Mwannyinaffe omutiini ng’ayogera eri bayizi banne

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Febwali 2017

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula ze tuyinza okukozesa okugaba Zuukuka!, n’okubuulira abantu ku bisobola okuyamba abafumbo okufuna essanyu mu bufumbo bwabwe. Kozesa ebyokulabirako ebyo okutegeka ennyanjula zo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Okugondera Yakuwa Kivaamu Ebirungi

Yakuwa Katonda atulaga engeri gye tusaanidde okweyisaamu.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Kristo Yabonaabona ku Lwaffe

Okufa kwa Yesu kwalaga nti Sitaani yali mulimba bwe yagamba nti abaweereza ba Katonda tebasobola kusigala nga beesigwa nga bagezesebwa.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yamba Abaana Bo Okuba n’Okukkiriza Okunywevu mu Katonda

Abaana bo bakkiriza nti ebintu byatondebwa? Oyinza otya okubayamba okuba n’okukkiriza nti Yakuwa Katonda ye yatonda ebintu byonna?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

‘Langirira Omwaka ogw’Okulagirwamu Ekisa kya Yakuwa’

Omwaka ogw’okulagirwamu ekisa kya Yakuwa mwaka gwennyini oba gwa kabonero? Ekiseera ekyo kikwatagana kitya n’omulimu gw’okubuulira?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe

Ebitabo byaffe bibunyisibwa mu nsi yonna, era ssente nnyingi ezikozesebwa okubikubwa. N’olwekyo tusaanidde okukozesa amagezi nga tubiwa abantu.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Eggulu Eriggya n’Ensi Empya Bijja Kuleetera Abantu Essanyu Eritagambika

Tuganyulwa tutya mu ‘ggulu eriggya n’ensi empya’ Katonda bye yasuubiza?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Sanyuka olw’Essuubi ly’Olina

Essuubi liringa ennanga y’eryato. Okufumiitiriza ku ssuubi lye tulina kituyamba okusigala nga tuli basanyufu wadde nga twolekagana n’ebizibu ebiringa omuyaga.