Kristo Yabonaabona ku Lwaffe
“Yanyoomebwa era abantu baamwewala . . . Twamutwala ng’eyali atulugunyizibwa, akubibwa, era abonyaabonyezebwa Katonda.”
-
Yesu yanyoomebwa era baamuwaayiriza nti yavvoola Katonda. Abamu baalowooza nti Katonda yali amubonereza
“Yakuwa yayagala abonyaabonyezebwe, . . . era okuyitira mu ye ebyo Yakuwa by’ayagala birituukirira.”
-
Yakuwa ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo bwe yalaba Omwana we ng’attibwa. Naye yasanyuka nnyo okulaba nga Yesu asigadde mwesigwa gy’ali. Yesu okusigala nga mwesigwa kyalaga nti Sitaani yali mulimba bwe yagamba nti abantu tebasobola kusigala nga beesigwa eri Katonda mu mbeera enzibu, era okufa kwe kuganyula abantu abawulize. Mu ngeri eyo, “Yakuwa by’ayagala” byatuukirira