Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

LIVING AS CHRISTIANS

Yamba Abaana Bo Okuba n’Okukkiriza Okunywevu mu Katonda

Yamba Abaana Bo Okuba n’Okukkiriza Okunywevu mu Katonda

Ebitonde birangirira ekitiibwa kya Yakuwa. (Zb 19:1-4; 139:14) Kyokka, ensi ya Sitaani ereetera abantu okulowooza nti Katonda si ye yatonda ebintu. (Bar 1:18-25) Oyinza otya okuyamba abaana bo baleme kutwalirizibwa ndowooza ng’eyo? Okuviira ddala nga bakyali bato, bayambe okukitegeera nti Yakuwa gyali era nti abafaako. (2Ko 10:4, 5; Bef 6:16) Fuba okutegeera kye balowooza ku ebyo bye bayigirizibwa ku ssomero, era okozese ebintu ebitali bimu Yakuwa by’atuwadde osobole okubatuuka ku mitima.Nge 20:5; Yak 1:19.

MULABE VIDIYO, BAVUBUKA BANNO KYE BAGAMBA—OKUKKIRIRIZA MU KATONDA, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Bwe kituuka ku kukkiririza mu Katonda, abantu bangi balina ndowooza ki enkyamu?

  • Ku ssomero gy’osomera babayigiriza ki ku nsonga eyo?

  • Kiki ekikukakasa nti Yakuwa gyali?

  • Oyinza otya okuyamba omuntu okukkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu byonna?