OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe
Yesu yagamba nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.” (Mat 10:8) Tugondera ebigambo bya Yesu ebyo, era tetutunda Bayibuli zaffe oba ekitabo ekirala kyonna. (2Ko 2:17) Wadde kiri kityo, ebitabo byaffe birimu amazima agava mu Kigambo kya Katonda. Okukuba ebitabo byaffe n’okubituusa mu bitundu ebitali bimu kitwala ssente nnyingi nnyo. N’olwekyo, kiba kirungi okutwala ebyo byokka bye twetaaga.
Tomala gawa buwi bantu bitabo, ne bw’oba ng’obuulira mu bifo ebya lukale. (Mat 7:6) Nga tonnaba kuwa muntu kitabo, sooka oyogere naye olabe obanga anaakisoma. Bw’oba oyogera naye, weebuuze obanga alina ky’akoze ku ebyo ebiragiddwa mu kasanduuko. Bw’oba tokakasa obanga ekitabo ky’oyagala okumuwa anaakisoma, kiba kirungi n’omulekera tulakiti. Kyokka singa omuntu asaba magazini oba ekitabo ekirala, tusaanidde okumuwa ekyo ky’asabye.