Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ISAAYA 58-62

‘Langirira Omwaka ogw’Okulagirwamu Ekisa kya Yakuwa’

‘Langirira Omwaka ogw’Okulagirwamu Ekisa kya Yakuwa’

“Omwaka ogw’okulagirwamu ekisa kya Yakuwa” mwaka gwa kabonero

61:1, 2

  • Kye kiseera Yakuwa mw’aweera abantu abawombeefu akakisa okuwulira amawulire amalungi

  • Mu kyasa ekyasooka, omwaka ogw’okulagirwamu ekisa gwatandika mu mwaka gwa 29 E.E., Yesu bwe yatandika okubuulira, ne guggwaako mu mwaka gwa 70 E.E., Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa ku ‘lunaku lwa Katonda olw’okuwoolerako eggwanga’

  • Mu kiseera kyaffe, omwaka ogw’okulagirwamu ekisa kya Yakuwa gwatandika mu 1914 Yesu bwe yatandika okufuga mu ggulu, era gujja kuggwaako ku kibonyoobonyo ekinene

Yakuwa awa abantu be “emiti eminene egy’obutuukirivu”

61:3, 4

  • Emiti egiba emiwanvu ennyo mu kibira gitera kuba nga giri wamu

  • Emirandira gy’omuti ogumu giba gyezingiridde n’egy’emiti emirala, era ekyo kigiyamba obutagwa ne bwe wabaawo kibuyaga ow’amaanyi

  • Emiti emiwanvu gisiikiriza emiti emito ne gitayokebwa musana, era ebikoola ebiva ku miti egyo bigimusa ettaka

“Emiti eminene egy’obutuukirivu,” nga bano be baafukibwako amafuta, bayamba abo bonna abali mu kibiina Ekikristaayo mu by’omwoyo