OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Sanyuka olw’Essuubi ly’Olina
Essuubi liringa ennanga y’eryato. (Beb 6:19) Lituyamba obutabbira mu by’omwoyo nga tufunye ebizibu ebiringa omuyaga. (1Ti 1:18, 19) Ebizibu ebyo biyinza okuba ebintu ebitumalamu amaanyi, obulwadde obw’amaanyi, okufiirwa omuntu waffe, oba ekintu ekirala kyonna ekiyinza okugezesa obwesigwa bwaffe eri Yakuwa.
Bwe tuba n’okukkiriza, tuba ng’abalaba ebintu Katonda bye yasuubiza. (2Ko 4:16-18; Beb 11:13, 26, 27) N’olwekyo, ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba kubeera ku nsi emirembe gyonna, tusaanidde okufumiitiriza ku bisuubizo bya Katonda ebiri mu Bayibuli tusobole okunyweza essuubi lyaffe. Ne bwe tunaafuna ebizibu, tujja kusobola okusigala nga tuli basanyufu.
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, SANYUKA OLW’ESSUUBI LY’OLINA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Musa yatuteerawo atya ekyokulabirako ekirungi?
-
Emitwe gy’amaka balina buvunaanyizibwa ki?
-
Bintu ki bye muyinza okukubaganyaako ebirowoozo mu Kusinza kw’Amaka?
-
Essuubi lye tulina liyinza kutuyamba litya nga tufunye ebizibu?
-
Biki bye weesunga?