Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Febwali 6-12

ISAAYA 47-51

Febwali 6-12
  • Oluyimba 120 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Okugondera Yakuwa Kivaamu Ebirungi”: (Ddak. 10)

    • Is 48:17—Okusinza okw’amazima kwesigamye ku kugoberera bulagirizi obuva eri Katonda (ip-2-E 131 ¶18)

    • Is 48:18—Yakuwa atwagala nnyo era ayagala tunyumirwe obulamu (ip-2-E 131 ¶19)

    • Is 48:19—Obuwulize buvaamu emiganyulo mingi (ip-2-E 132 ¶20-21)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Is 49:6—Mu ngeri ki Masiya gy’ali “ekitangaala eri amawanga,” wadde nga bwe yali ku nsi yabuulira mu Isirayiri mwokka? (w07 4/1 5 ¶9)

    • Is 50:1—Lwaki Yakuwa yabuuza Abayisirayiri nti: “Ebbaluwa ey’okugattululwa gye nnawa nnyammwe gwe nnagoba eruwa?” (it-1-E 643 ¶4-5)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?

    • Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Is 51:12-23

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa, era oluvannyuma lwa buli vidiyo mukubaganye ebirowoozo. Mu Febwali, ababuulizi bayinza okugaba brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 89

  • Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 7) Oba oyinza okwogera ku by’okuyiga ebiri mu katabo Yearbook. (yb16-E 144-145)

  • Beera Mukwano gwa Yakuwa—Gondera Yakuwa: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Beera Mukwano gwa Yakuwa—Gondera Yakuwa. Oluvannyuma, mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino: Nsonga ki esinga obukulu etuleetera okugondera Yakuwa? (Nge 27:11) Abaana bayinza batya okugondera Yakuwa? Abantu abakulu bayinza batya okugondera Yakuwa?

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 7 ¶10-19, akas. ku lup. 81

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 105 n’Okusaba