Febwali 12-18
MATAYO 14-15
Oluyimba 93 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yaliisa Bangi ng’Ayitira mu Batono”: (Ddak. 10)
Mat 14:16, 17—Abatume baalina emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri byokka (w13 7/15 lup. 15 ¶2)
Mat 14:18, 19—Yesu yaliisa abantu bangi nnyo ng’ayitira mu batume be (w13 7/15 lup. 15 ¶3)
Mat 14:20, 21—Abantu nkumi na nkumi baaganyulwa mu kyamagero ekyo Yesu kye yakola (nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 14:21; w13 7/15 lup. 15 ¶1)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Mat 15:7-9—Lwaki tulina okwewala obunnanfuusi? (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)
Mat 15:26—Yesu ayinza kuba nga yali ategeeza ki bwe yakozesa ebigambo “obubwa obuto”? (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mat 15:1-20
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okwogera: (Ddak. 6 oba obutawera) w15 9/15 lup. 16-17 ¶14-17—Omutwe: Tunuulira Yesu, Onyweze Okukkiriza Kwo.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mukwano gwa Yakuwa—Okufuna Emikwano: (Ddak. 7) Mulabe vidiyo (Genda ku vidiyo ABAANA). Oluvannyuma, yita abaana be wateeseteese bajje ku siteegi obabuuze ebibuuzo bino: Lwaki abantu abaagala Yakuwa b’osaanidde okufuula mikwano gyo? Biki by’oyinza okubayigirako?
“Kitaawo ne Nnyoko Obassangamu Ekitiibwa”: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo eya bukaatuuni erina omutwe, Nnyinza Kwogera Ntya ne Bazadde Bange? (Genda ku vidiyo ABAVUBUKA).
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 8
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 148 n’Okusaba