Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

“Kitaawo ne Nnyoko Obassangamu Ekitiibwa”

“Kitaawo ne Nnyoko Obassangamu Ekitiibwa”

Yesu bwe yali ku nsi, yajjukiza abantu etteeka erigamba nti: “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.” (Kuv 20:12; Mat 15:4) Yesu yayogera ebigambo ebyo n’obuvumu kubanga naye bwe yali akyali muto, ‘yagondera’ bazadde be. (Luk 2:51) Ate era ne bwe yali akuze, ng’anaatera okufa, yakola enteekateeka maama we asobole okusigala ng’alabirirwa.​—Yok 19:26, 27.

Abaana Abakristaayo abagondera bazadde baabwe era ne boogera nabo bulungi, baba balaga nti babassaamu ekitiibwa. Etteeka eritulagira okugondera bazadde baffe teririiko myaka. Bazadde baffe ne bwe baba bakaddiye, tusaanidde okweyongera okubassaamu ekitiibwa nga tukolera ku magezi ge batuwa. (Nge 23:22) Ate era bwe tulabirira bazadde baffe abakaddiye, kiba kiraga nti tubassaamu ekitiibwa. (1Ti 5:8) Ka tube bato oba bakulu, bwe tuba n’empuliziganya ennungi ne bazadde baffe, kiraga nti tubassaamu ekitiibwa.

MULABE VIDIYO YA BUKAATUUNI ERINA OMUTWE, NNYINZA KWOGERA NTYA NE BAZADDE BANGE? OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Lwaki kiyinza okukuzibuwalira okwogera ne bazadde bo?

  • Bw’oba oyogera ne bazadde bo, oyinza otya okulaga nti obassaamu ekitiibwa?

  • Lwaki kirungi okufuba okwogeranga ne bazadde bo? (Nge 15:22)

    Okwogera ne bazadde bo kya muganyulo nnyo