Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Okukozesa Obulungi Ebibuuzo

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Okukozesa Obulungi Ebibuuzo

LWAKI KIKULU?: Bwe kiba nti “ebirowoozo by’omu mutima gw’omuntu biringa amazzi ag’ebuziba,” ebibuuzo biringa akalobo ak’okukozesa okusena amazzi ago. (Nge 20:5) Ebibuuzo biyamba omuntu gwe tubuulira okubaako by’ayogera. Bwe tukozesa obulungi ebibuuzo, tusobola okumanyira ddala omuntu ky’alowooza. Yesu yakozesanga bulungi ebibuuzo. Tuyinza tutya okumukoppa?

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Buuza ebibuuzo ebiyamba omuntu okuwa endowooza ye. Yesu yabuuza abayigirizwa be ebibuuzo ebiwerako okusobola okumanya endowooza yaabwe. (Mat 16:13-16; be lup. 238 ¶3-5) Bibuuzo ki by’osobola okubuuza omuntu n’omanya endowooza ye?

  • Buuza ebibuuzo ebiyamba omuntu okumanya eky’okuddamu ekituufu. Okusobola okutereeza endowooza ya Peetero, Yesu yamubuuza ebibuuzo n’amuwa ne by’ayinza okuddamu, ne kimuyamba okumanya ekituufu. (Mat 17:24-26) Bibuuzo bya ngeri ki by’osobola okubuuza omuntu okumuyamba okumanya ekituufu?

  • Mwebaze. Omuwandiisi bwe yaddamu “mu ngeri ey’amagezi,” Yesu yamwebaza. (Mak 12:34) Oyinza otya okwebaza omuntu ng’azzeemu ekibuuzo ky’omubuuzizza?

MULABE EKITUNDU EKISOOKA EKYA VIDIYO ERINA OMUTWE, KOLA OMULIMU YESU GWE YAKOLA​—YIGIRIZA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Lwaki omubuulizi oyo tayigirizza bulungi, wadde nga by’ayogedde bituufu?

  • Lwaki tetusaanidde kukoma ku kunnyonnyola bunnyonnyozi?

MULABE EKITUNDU EKY’OKUBIRI EKYA VIDIYO EYO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ow’oluganda oyo akozesezza atya bulungi ebibuuzo?

  • Biki ebirala bye tusobola okumuyigirako?

Abantu bayinza kukwatibwako batya bwe tubayigiriza obulungi? (Luk 24:32)