Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Febwali 26–Maaki 4

MATAYO 18-19

Febwali 26–Maaki 4
  • Oluyimba 121 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Weewale Ebiyinza Okukuviirako Okwesittala n’Okwesittaza Abalala”: (Ddak. 10)

    • Mat 18:6, 7​—Tulina okwewala okuleetera abalala okwesittala (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa, n’ebifaananyi)

    • Mat 18:8, 9​—Tulina okwewala ekintu kyonna ekiyinza okutuviirako okwesittala (nwtsty Awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa, n’awannyonnyolerwa ebigambo ebimu, “Ggeyeena”)

    • Mat 18:10​—Bwe tuleetera abalala okwesittala, Yakuwa akimanya (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa; w11 1/1 lup. 16)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Mat 18:21, 22​—Baganda baffe tusaanidde kubasonyiwa mirundi emeka? (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)

    • Mat 19:7​—Lwaki omusajja yawanga mukazi we ebbaluwa eraga nti amugobye? (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mat 18:18-35

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.

  • Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Weerondere ekyawandiikibwa eky’okukozesa, era omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.

  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bhs lup. 26 ¶18-20​—Laga engeri y’okutuuka ku mutima gw’omuyizi.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 90

  • Tokolanga Kintu Kyonna Kyesittaza (2Ko 6:3): (Ddak. 9) Mulabe vidiyo (Genda ku vidiyo PROGRAMU EZ’ENJAWULO N’EBIBADDEWO).

  • Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo Ajja Kutandika nga Maaki 3: (Ddak. 6) Kwogera nga kwesigamiziddwa ku ebyo ebiri mu katabo Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe aka Febwali 2016, olupapula 8. Buli omu muwe akapapula akayita abantu ku Kijjukizo, era oyogere ku ebyo ebikalimu. Bategeeze nti okwogera okw’enjawulo okulina omutwe ogugamba nti, “Ddala Yesu Kristo y’Ani?” kujja kuweebwa mu wiiki etandika nga Maaki 19, 2018. Ekyo kijja kubaleetera okwesunga omukolo gw’Ekijjukizo. Babuulire enteekateeka ezikoleddwa okusobola okumalako ekitundu kyammwe.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 10, akas. ku lup. 28

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 133 n’Okusaba