Weewale Ebiyinza Okukuviirako Okwesittala n’Okwesittaza Abalala
Yesu yalaga akabi akali mu kwesittala oba okuleetera abalala okwesittala.
-
“Ekyesittaza” kye kintu oba embeera ereetera omuntu okuva mu kkubo ettuufu n’akola ekintu ekikyamu, oba ekibi
-
Omuntu aleetera omulala okwesittala kyandisinzeeko singa asibibwa olubengo mu bulago n’asuulibwa mu nnyanja
-
Yesu yakubiriza abagoberezi be okweggyako ekintu kyonna ka kibe kya muwendo nnyo ng’eriiso oba omukono, bwe kiba nga kibaleetera okwesittala
-
Kisingako okwefiiriza ebintu ng’ebyo eby’omuwendo n’oyingira mu Bwakabaka bwa Katonda, okusinga okuba nabyo n’osuulibwa mu Ggeyeena, nga kuno kwe kufa okw’olubeerera
Kiki mu bulamu bwange ekiyinza okufuuka ekyesittaza, era nnyinza ntya okwewala okwesittala oba okuleetera abalala okwesittala?