Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 12-13

Olugero lw’Eŋŋaano n’Omuddo

Olugero lw’Eŋŋaano n’Omuddo

Yesu yakozesa olugero lw’eŋŋaano n’omuddo okulaga ekiseera n’engeri gye yandikuŋŋaanyizzaamu Abakristaayo abaafukibwako amafuta, era ng’ekyo yandikikoze okutandikira mu mwaka gwa 33 E.E.

13:24

‘Omusajja yasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye’

  • Omusizi: Yesu Kristo

  • Ensigo ennungi zisigibwa: Abayigirizwa ba Yesu bafukibwako omwoyo omutukuvu

  • Ennimiro: Ensi

13:25

“Abantu bwe baali beebase, omulabe we n’ajja n’asiga mu ŋŋaano omuddo”

  • Omulabe: Sitaani

  • Abantu bwe baali beebase: Ng’abatume bafudde

13:30

“Mubireke bikulire wamu okutuusa ku makungula”

  • Eŋŋaano: Abakristaayo abaafukibwako amafuta

  • Omuddo: Abakristaayo ab’obulimba

‘Musooke mukuŋŋaanye omuddo, oluvannyuma mulyoke mukuŋŋaanye eŋŋaano’

  • Abaddu/abakunguzi: Bamalayika

  • Omuddo gukuŋŋaanyizibwa: Abakristaayo ab’obulimba baawulibwa ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta

  • Okukuŋŋaanyiza mu tterekero: Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakuŋŋaanyizibwa mu kibiina Ekikristaayo ekizziddwawo

Ekiseera eky’amakungula bwe kyatandika, kiki ekyayawulawo Abakristaayo ab’amazima ku b’obulimba?

Olugero luno lunjigiriza ki?