Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ABARUUMI 4-6

“Katonda Atulaga Okwagala Kwe”

“Katonda Atulaga Okwagala Kwe”

5:8, 18, 21

Ekirabo Yakuwa kye yatuwa eky’ekinunulo kigonjoola ensonga enkulu ennyo, gamba ng’okugulumizibwa kw’erinnya lye n’obufuzi bwe. Naye era ekinunulo kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kati, era kisobozesa abantu bonna abawulize okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.

Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekirabo ky’ekinunulo?

  • Okwewaayo n’okubatizibwa biraga nti tukkiririza mu kinunulo era nti twagala kubeera mikwano gya Yakuwa

  • Okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda kiraga nti tukoppa okwagala Yakuwa kw’alina eri abantu.​—Mat 22:39; Yok 3:16

Ngeri ki endala ze nnyinza okulagamu nti nsiima Yakuwa olw’ekirabo ky’ekinunulo?