OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Weeyongere Okulindirira n’Obugumiikiriza
Omaze bbanga ki ng’olindirira Obwakabaka bwa Katonda okujja? Obadde olindirira n’obugumiikiriza wadde ng’olina ebizibu? (Bar 8:25) Abakristaayo abamu bakyayibwa, bayigganyizibwa, basibibwa mu makomera, oba oluusi n’okuttibwa. Abalala bangi bagumidde ebizibu gamba ng’obulwadde obw’amaanyi n’okukaddiwa.
Kiki ekinaatuyamba okulindirira n’obugumiikiriza wadde nga tufunye ebizibu? Tusaanidde okusoma Bayibuli buli lunaku era ne tugifumiitirizaako tusobole okunyweza okukkiriza kwaffe. Ebirowoozo byaffe tusaanidde kubissa ku ssuubi lye tulina. (2Ko 4:16-18; Beb 12:2) Tusaanidde okwegayirira Yakuwa atuwe amaanyi g’omwoyo gwe omutukuvu. (Luk 11:10, 13; Beb 5:7) Kitaffe ow’omu ggulu asobola okutuyamba “okugumira byonna n’okugumiikiriza n’essanyu.”—Bak 1:11.
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, TULINA ‘OKUDDUKA N’OBUGUMIIKIRIZA’—BEERA MUKAKAFU NTI OJJA KUFUNA EMPEERA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Bintu ki “ebitasuubirwa” ebiyinza okututuukako mu bulamu? (Mub 9:11)
-
Okusaba kutuyamba kutya bwe tuba tufunye ebizibu?
-
Bwe tuba nga tuwulira nti tetukyasobola kuweereza Yakuwa mu bujjuvu nga bwe twakolanga edda, lwaki tusaanidde okussa ebirowoozo byaffe ku ekyo kye tusobola okukola kati?
-
Kiki ekikuyamba okuba omukakafu nti ojja kufuna empeera?