Febwali 25–Maaki 3
ABARUUMI 9-11
Oluyimba 25 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Ekyokulabirako Ekikwata ku Muzeyituuni”: (Ddak. 10)
Bar 11:16—Omuzeyituuni ogw’omu nnimiro gukiikirira okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda ekikwata ku ndagaano gye yakola ne Ibulayimu (w11 5/15 lup. 23 ¶13)
Bar 11:17, 20, 21—Abaafukibwako amafuta abaayungibwa ku muzeyituuni ogw’akabonero balina okweyongera okwoleka okukkiriza (w11 5/15 lup. 24 ¶15)
Bar 11:25, 26—Omuwendo omujjuvu ogwa Isirayiri ow’omwoyo ‘bajja kulokolebwa’ (w11 5/15 lup. 25 ¶19)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Bar 9:21-23—Lwaki tusaanidde okukkiriza okubumbibwa Yakuwa, Omubumbi Omukulu? (w13 6/15 lup. 25 ¶5)
Bar 10:2—Lwaki tulina okukakasa nti okusinza kwaffe kwesigamye ku kumanya okutuufu? (it-1-E lup. 1260 ¶2)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bar 10:1-15 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 6)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) Tandika n’okuddiŋŋana okw’okubiri okuli mu kitundu Bye Tuyinza Okwogerako, oluvannyuma otandike okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa akatabo Bye Tuyiga. (th essomo 9)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okulekera Awo Okuyigiriza Abayizi Abatakulaakulana”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 56
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 36 n’Okusaba