Ekyokulabirako Ekikwata ku Muzeyituuni
Ebitundu eby’enjawulo eby’omuzeyituuni ogw’akabonero bikiikirira ki?
-
Omuzeyituuni: okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda ekikwata ku ndagaano gye yakola ne Ibulayimu
-
Enduli: Yesu, ezzadde lya Ibulayimu ekkulu
-
Amatabi: omuwendo omujjuvu ogw’abalala abali mu zzadde lya Ibulayimu
-
Amatabi ‘agaamenyebwako’: Abayudaaya abatakkiririza mu Yesu
-
Amatabi ‘agaayungibwako’: Abakristaayo abaafukibwako amafuta abava mu mawanga gonna
Nga bwe kyalagulwa, “amawanga gonna ag’omu nsi” galyefunira omukisa okuyitira mu zzadde lya Ibulayimu, nga bano ye Yesu Kristo ne 144,000.—Bar 11:12; Lub 22:18
Engeri ekigendererwa kya Yakuwa ekikwata ku zzadde lya Ibulayimu gye kyatuukiriramu enjigiriza ki ku Yakuwa?