Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Okulekera Awo Okuyigiriza Abayizi Abatakulaakulana

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Okulekera Awo Okuyigiriza Abayizi Abatakulaakulana

LWAKI KIKULU?: Abantu okusobola okulokolebwa, balina okukoowoola erinnya lya Yakuwa. (Bar 10:13, 14) Kyokka, si buli muntu akkiriza okuyigirizibwa Bayibuli nti aba ayagala okugoberera emitindo gya Yakuwa. Bwe tuyamba abo bokka abaagala okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe basobole okusanyusa Yakuwa, tuba tukozesa bulungi ebiseera bye tumala mu buweereza. Singa oluvannyuma lw’ekiseera omuyizi wa Bayibuli takola nkyukakyuka ezeetaagisa, kiba kirungi okumuleka mu ngeri ey’amagezi ne tunoonya abo Yakuwa b’asika okubazza gy’ali. (Yok 6:44) Bwe wayitawo ekiseera omuntu gwe twaleka n’alaga nti ddala ‘alina endowooza ennuŋŋamu emusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo,’ tuddamu okumuyigiriza Bayibuli.​—Bik 13:48.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Siima omuyizi olw’okwagala okuyiga amazima.​—1Ti 2:4

  • Mulage obukulu bw’okukolera ku ebyo by’ayiga.​—Luk 6:46-49

  • Mu ngeri ey’ekisa, kubaganya naye ebirowoozo ku lugero lwa Yesu olukwata ku musizi era omukubirize okulowooza ku kiyinza okuba nga kye kimulemesa okukulaakulana.​—Mat 13:18-23

  • Munnyonnyole mu ngeri ey’amagezi ensonga lwaki ogenda kulekera awo okumuyigiriza

  • Mutegeeze nti ojja kumukyalirangako okumuzaamu amaanyi era nti bw’aliba akoze enkyukakyuka ezeetaagisa, ojja kuddamu okumuyigiriza

MULABE VIDIYO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kiki ekiraze nti omuyizi oyo takulaakulana?

  • Omubuulizi ayambye atya omuyizi okulaba obukulu bw’okukola enkyukakyuka?

  • Kiki omubuulizi ky’akoze okulaga omuyizi nti oluvannyuma basobola okuddamu okuyiga?