Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Otegeera Engeri za Katonda Ezitalabika?

Otegeera Engeri za Katonda Ezitalabika?

Bw’otunuulira ekimuli ekirabika obulungi, oba eggulu eririko emmunyeenye, olaba omulimu Omutonzi gwe yakola? Ebitonde ebitwetoolodde byoleka engeri za Yakuwa ezitalabika. (Bar 1:20) Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tulaba, tusobola okukitegeera nti Katonda alina amaanyi, alina okwagala, alina amagezi mangi, mwenkanya, era mugabi.​—Zb 104:24.

Bintu ki Yakuwa bye yatonda by’olaba buli lunaku? Ne bw’oba ng’obeera mu kibuga, osobola okulaba ebinyonyi n’emiti. Bwe tufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda, kisobola okutuyamba obuteeraliikirira nnyo, obutamalira birowoozo byaffe ku bizibu bye tulina, era n’okuba abakakafu nti Yakuwa asobola okutulabirira emirembe gyonna. (Mat 6:25-32) Bw’oba olina abaana, bayambe okutegeera engeri za Yakuwa ez’ekitalo. Bwe tweyongera okusiima ebitonde ebitwetoolodde, tujja kuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’Omutonzi.​—Zb 8:3, 4.

MULABE VIDIYO, EBITONDE BYOLEKA EKITIIBWA KYA KATONDA​—EKITANGAALA NE LANGI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kiki ekitusobozesa okulaba langi ez’enjawulo?

  • Kiki ekireetera langi z’ebintu okukyuka okusinziira ku kifo ky’obirabiramu?

  • Lwaki tulaba langi ez’enjawulo ku ggulu?

  • Langi ki z’olaba mu bitonde ebiri okumpi ne w’obeera ezisinga okukusikiriza?

  • Lwaki tusaanidde okuwaayo obudde okwetegereza ebintu Yakuwa bye yatonda?

Ekitangaala ne langi byoleka ngeri ki eza Yakuwa?