OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Janwali 2016
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Engeri gye tuyinza okugabamu, Omunaala gw’Omukuumi, Awake!, ne brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! Tegeka ennyanjula yo.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Okusinza okw’Amazima Kwetaagisa Okufuba
Kuba akafaananyi ku ngeri Kabaka Keezeekiya gye yamaliriramu okuzzaawo okusinza okw’amazima. Weeyambise ebifaananyi ne mmaapu, okukuba akafaananyi ku ebyo ebiri mu 2 Ebyomumirembe 29-30.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Engeri y’Okuyigiriza Omuntu nga Tukozesa Brocuwa Amawulire Amalungi
Ebintu bitaano by’oyinza okukola okuyigiriza obulungi omuntu Bayibuli ng’okozesa brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Tulina Enkizo ey’Okuzimba n’Okulabirira Ebifo Mwe Tusinziza
Tuyinza tutya okulaga nti tuli twagala nnyo ebifo mwe tusinziza era nti tuli banyiikivu mu kubirabirira?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yakuwa Ayagala Omuntu Eyeenenya mu Bwesimbu
Kabaka Manase bwe yeenenya mu bwesimbu yasonyiyibwa. Geraageranya obufuzi bwe nga tannawambibwa ne bwe yali amaze okuteebwa okuva e Babulooni. (2 Ebyomumirembe 33-
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yakuwa Atuukiriza Ebisuubizo Bye
Ebiri mu Ezera 1-
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yakuwa Ayagala Tumuweereze nga Tetuwalirizibwa
Ezera awamu n’abo be yaddayo nabo e Yerusaalemi baali beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, nga baagala nnyo okusinza okw’amazima, era nga bavumu. Ng’okezesa ebifaananyi ne mmaapu, kuba akafaananyi nga bali ku lugendo lwabwe.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe —Lekawo Kye Munaayogerako ng’Ozzeeyo
Ebintu bisatu ebisobola okutuyamba okuddayo eri oyo eyasiima obubaka bwaffe.