Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjanwali 18-24

EZERA 1-5

Jjanwali 18-24
  • Oluyimba 85 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Yakuwa Atuukiriza Ebisuubizo Bye”: (Ddak. 10) [Musseeko vidiyo erina omutwe, Okwanjula Ekitabo kya Ezera.]

    • Ezr 3:1-6—Obunnabbi bwa Yakuwa tebulema kutuukirira (w06 1/1 25 ¶2)

    • Ezr 5:1-7—Yakuwa asobola okukola kyonna ekisoboka okuyamba abaweereza be (w06 1/1 25 ¶4; w86-E 1/15 9 ¶2; w86-E 2/1 29 akasanduuko)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Ezr 1:3-6—Lwaki tuyinza okugamba nti Abayisirayiri abataddayo mu Yerusaalemi tebaalina kukkiriza kutono? (w06 1/1 23 ¶4; 25 ¶1)

    • Ezr 4:1-3—Lwaki Abayudaaya baagaana abantu abalala okubayambako mu kuzimba? (w06 1/1 25 ¶3)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?

    • Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?

  • Okusoma Bayibuli: Ezr 3:10–4:7 (Ddak. 4 oba obutawera)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi abuulira. Akozesa ekitundu ekisembayo mu Munaala gw’Omukuumi omupya. Alekawo kye banaayogerako ng’azzeeyo.

  • Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi azeeyo eri omuntu eyasiima ebyo bye baayogerako mu kitundu ekisembayo mu Munaala gw’Omukuumi omupya. Alekawo kye banaayogerako ng’azzeeyo.

  • Ng’Otandise Okuyigiriza Omuntu: (Ddak. 6 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi atandise okuyigiriza omuntu Bayibuli. Akozesa bh 20-21 ¶6-8.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 40

  • “Ebirala Byonna Biribongerwako”: (Ddak. 5) Kwogera nga kwesigamiziddwa ku Matayo 6:33 ne Lukka 12:22-24. Saba ababuulizi boogere ku ngeri Yakuwa gye yatuukirizaamu ekisuubizo kye eky’okubalabirira bwe baakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe.

  • Ekigambo Kyo Kiba—“‘Yee’ Ate Oluvannyuma ne Kiba ‘Nedda’”? (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. (w14 3/15 30-32)

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: ia sul. 7 ¶1-14 (Ddak. 30)

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 41 n’Okusaba