Yakuwa Ayagala Tumuweereze nga Tetuwalirizibwa
Ezera yakola enteekateeka okuddayo e Yerusaalemi
• Kabaka yawa Ezera “byonna bye yasaba” —zzaabu, ffeeza, eŋŋaano, omwenge, amafuta, n’omunnyo, nga byonna bibalirirwamu ddoola z’Amerika ezisukka mu bukadde ekikumi
Ezera yali mukakafu nti Yakuwa yandikuumye abaweereza be
-
Olugendo lw’e Yerusaalemi terwali lwangu
-
Olugendo lwali lwa mayiro nga 1,000 era ebitundu bye baayitamu byalimu ebizibu ebitali bimu ebyateeka obulamu bwabwe mu kabi
-
Olugendo lwamala emyezi ng’ena
• Abo abaddayo baali beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, okwagala ennyo okusinza okw’amazima, era n’okuba abavumu
EZERA YATWALA . . .
Zzaabu ne ffeeza ebizitowa ttalanta ezisukka mu 750 Obuzito obwo bwenkana obw’enjovu ssatu ennene obulungi!
EBIZIBU BYE BAAYITAMU NGA BADDAYO
Abazigu, okuyita mu ddungu, n’enjaba ez’obusagwa