OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe —Lekawo Kye Munaayogerako ng’Ozzeeyo
LWAKI KIKULU:
Twagala okufukirira ensigo ez’amazima ze tusiga. (1Ko 3:6) Omuntu bw’asiima obubaka bwaffe, kiba kirungi n’olekawo ekibuuzo kye munaakubaganyaako ebirowoozo ng’ozzeeyo. Ekyo kijja kumuleetera okwesunga, era naawe kijja kukwanguyira okuddayo. Bw’oddayo, omugamba bugambi nti nkomyewo okuddamu ekibuuzo kye nnakulekera.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
-
Bw’oba otegeka ennyanjula gy’onookozesa ng’obuulira nnyumba ku nnyumba, tegeka n’ekibuuzo kye munaakubaganyaako ebirowoozo ng’ozzeeyo. Ekibuuzo ekyo kiyinza okuba nga kiddibwamu mu katabo k’ogenda okumuwa, oba mu kimu ku bitabo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli ky’onoomuwa ng’ozzeeyo.
-
Bw’oba omaze okwogera n’omuntu asiimye obubaka bwaffe, mutegeeze nti wandyagadde okukubaganya naye ebirowoozo omulundi omulala era olekewo ekibuuzo kye wateeseteese. Bwe kiba kisoboka, musabe akubuulire engeri gye musobola okuddamu okusisinkana.
-
Bw’omubuulira ekiseera ky’ojja okuddirayo, fuba okukituukiriza.
—Mat 5:37.