Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ISAAYA 34-37

Keezeekiya Yaweebwa Emikisa olw’Okwoleka Okukkiriza

Keezeekiya Yaweebwa Emikisa olw’Okwoleka Okukkiriza

Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli yatuma Labusake agende agambe abantu b’omu kibuga Yerusaalemi beeweeyo gy’ali. Abaasuli baakozesa obukodyo obutali bumu okutiisatiisa Abayudaaya beeweeyo gye bali.

  • Okubamalamu amaanyi. Misiri tejja kubayamba.Is 36:6

  • Okubaleetera okubuusabuusa. Yakuwa tajja kubalwanirira kubanga mwamunyiiza.Is 36:7, 10

  • Okubatiisatiisa. Temujja kusobola kuwangula ggye ly’Abaasuli kubanga lya maanyi nnyo.Is 36:8, 9

  • Okubasendasenda. Bwe muneewaayo eri kabaka wa Bwasuli mujja kuba bulungi.Is 36:16, 17

Keezeekiya yakiraga nti yali yeesiga Yakuwa

37:1, 2, 14-20, 36

  • Yakola kyonna ekisoboka okwetegekera olutalo

  • Yasaba Yakuwa abayambe era n’agamba abantu nabo bakole kye kimu

  • Yakuwa yamuwa emikisa olw’okwoleka okukkiriza; yatuma malayika n’atta abasirikale Abaasuli 185,000 mu kiro kimu