Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

“Ai Yakuwa, . . . Nneesiga Ggwe”

“Ai Yakuwa, . . . Nneesiga Ggwe”

Kikulu nnyo okwesiga Yakuwa ka tube nga tuli mu mbeera nnungi oba nga tulina ebizibu. (Zb 25:1, 2) Mu kyasa eky’omunaana E.E.T., waaliwo embeera eyagezesa okukkiriza kw’Abayudaaya. Tulina bingi bye tusobola okubayigirako. (Bar 15:4) Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo erina omutwe ogugamba nti: “Ai Yakuwa, . . . Nneesiga Ggwe” ebibuuzo bino oyinza kubiddamu otya?

  1. Mbeera ki enzibu Keezeekiya gye yalimu?

  2. Keezeekiya yakolera atya ku musingi oguli mu Engero 22:3 bwe yamanya nti ekibuga Yerusaalemi kiyinza okulumbibwa?

  3. Lwaki Keezeekiya teyalowooza ku kya kwewaayo eri Abaasuli oba okukola omukago n’Abamisiri?

  4. Keezeekiya yateerawo atya Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi?

  5. Bintu ki leero ebiyinza okugezesa obwesige bwe tulina mu Yakuwa?

Wandiika embeera mwe weetaaga okulaga nti weesiga Yakuwa.