Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ISAAYA 24-28

Yakuwa Alabirira Abantu Be

Yakuwa Alabirira Abantu Be

Okufaananako omuntu agabula abagenyi be, Yakuwa atuwa emmere nnyingi ey’eby’omwoyo.

“Yakuwa ow’eggye aliteekerateekera amawanga gonna ekijjulo”

25:6

  • Mu biseera eby’edda, abantu bwe baaliranga awamu ekijjulo kyalaganga nti ba mukwano era nti balina enkolagana ennungi

“Eky’ebya ssava ebijjudde obusomyo, eky’omwenge omulungi, ogusengejjeddwa”

  • Ekijjulo eky’ebya ssava n’omwenge ogusengejjeddwa bikiikirira emmere ennungi ennyo ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa