OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Teweerabira Kusabira Bakristaayo Bannaffe Abayigganyizibwa
Bayibuli eraga nti Sitaani yandituyigganyizza ng’ayagala okutulemesa okuweereza Yakuwa. (Yok 15:20; Kub 12:17) Tuyinza tutya okuyamba Bakristaayo bannaffe abayigganyizibwa, abali mu nsi endala? Tuyinza okubasabira. Bayibuli egamba nti: “Okusaba kw’omutuukirivu kulina amaanyi mangi.”
Biki bye tuyinza okusaba Yakuwa abakolere? Tuyinza okusaba Yakuwa abawe obuvumu era abayambe baleme kutya. (Is 41:10-13) Tuyinza n’okusaba Yakuwa akwate ku mitima gy’ab’obuyinza baleme kuziyiza mulimu gwaffe ogw’okubuulira, “tusobole okubeera mu bulamu obuteefu era obw’emirembe.”
Pawulo ne Peetero bwe baali bayigganyizibwa, Bakristaayo bannaabwe baabasabira. (Bik 12:5; Bar 15:30, 31) Ne bwe tuba nga tetumanyi mannya ga baganda baffe ne bannyinaffe bonna abayigganyizibwa, bwe tuba tubasabira, tuyinza okwogera amanya g’ebibiina mwe bali, ebitundu mwe bali, oba ensi mwe bali.