Jjanwali 30–Febwali 5
ISAAYA 43-46
Oluyimba 33 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Byonna Yakuwa by’Ayogera Bituukirira”: (Ddak. 10)
Is 44:26-28
—Yakuwa yagamba nti ekibuga Yerusaalemi ne yeekaalu byandizzeemu okuzimbibwa, era nti Kuulo ye yandiwambye Babulooni (ip-2-E 71-72 ¶22-23) Is 45:1, 2
—Yakuwa yalaga engeri Babulooni gye kyandiwambiddwamu (ip-2-E 77-78 ¶4-6) Is 45:3-6
—Yakuwa yawa ensonga lwaki yakozesa Kuulo okuwamba Babulooni (ip-2-E 79-80 ¶8-10)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Is 43:10-12
—Mu ngeri ki Abayisirayiri gye bandibadde Abajulirwa ba Yakuwa? (w14 11/15 21-22 ¶14-16) Is 43:25
—Nsonga ki enkulu ereetera Yakuwa okusangula ebyonoono byaffe? (ip-2-E 60 ¶24) Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Is 46:1-13
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) dg
—Okubuulira embagirawo ng’obuulira mukozi munno oba oyo gw’osoma naye. Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) dg
—Lekawo kye munaayogerako ng’ozzeeyo. Ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) jl essomo 4
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 143
Tukakasa Tutya nti Bayibuli Ntuufu?: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo erina omutwe, Tukakasa Tutya nti Bayibuli Ntuufu? Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino: Tuyinza tutya okukozesa vidiyo eno nga tubuulira embagirawo, nga tubuulira mu bifo ebya lukale, oba nga tubuulira nnyumba ku nnyumba? Birungi ki by’ofunye bw’okozesezza vidiyo eno?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 7 ¶1-9, akas. ku lup. 76, 78
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 130 n’Okusaba