OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Janwali 2018
Bye Tuyinza Okwogerako
Bye tuyinza okwogerako mu buweereza ebiraga obanga Bayibuli ya mugaso mu kiseera kino.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Obwakabaka obw’Omu Ggulu Busembedde”
Yokaana teyalina bintu bingi era ekyo kyamusobozesa okwemalira ku kuweereza Katonda. Ne leero, bwe tutaba na bintu bingi, kitusobozesa okuweereza Katonda mu ngeri esingako.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Bye Tuyiga mu Kuyigiriza kwa Yesu okw’Oku Lusozi
Okumanya obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo kitegeeza? Tuyinza tutya okwongera ku biseera bye tumala nga tulya emmere ey’eby’omwoyo?
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Sooka Otabagane ne Muganda Wo—Mu Ngeri Ki?
Yesu yalaga nti waliwo kakwate ki wakati w’enkolagana yaffe ne baganda baffe, n’okusinza kwaffe?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Musooke Munoonyenga Obwakabaka
Ku bintu byonna bye tusobola okusaba, biki bye tusaanidde okukulembeza?
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Mulekere Awo Okweraliikirira
Yesu bwe yali ayigiriza, lwaki yagamba abayigirizwa be okulekera awo okweraliikirira?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yesu Yali Ayagala Nnyo Abantu
Yesu bwe yawonyanga abantu, kyalaga nti yalina amaanyi, naye okusingira ddala kyalaga nti yali ayagala nnyo abantu era nti yali musaasizi.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yesu Yazzangamu Abalala Amaanyi
Bwe tukkiriza okusitula ekikoligo kya Yesu nga tubatizibwa ne tufuuka abayigirizwa be, tuba tukkirizza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Kyokka si kizibu kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo, era tufuna emikisa mingi.