Jjanwali 1-7
MATAYO 1-3
Oluyimba 14 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Obwakabaka obw’Omu Ggulu Busembedde”: (Ddak. 10)
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo kya Matayo.]
Mat 3:1, 2—Yokaana Omubatiza yabuulira nti Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda yali anaatera okulabika (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)
Mat 3:4—Yokaana Omubatiza teyalina bintu bingi, era ekyo kyamusobozesa okwemalira ku kuweereza Katonda (nwtsty ebifaananyi)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Mat 1:3—Lwaki abakazi bataano baateekebwa mu lunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu oluli mu Matayo, ng’ate lwandibaddemu basajja bokka? (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)
Mat 3:11—Kiki ekiraga nti okubatizibwa kuba kunnyikibwa mu mazzi? (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mat 1:1-17
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okulaga Vidiyo ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulage vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Laba ku lup. 1.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bhs lup. 41-42 ¶6-7.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Alipoota y’Omwaka: (Ddak. 15) Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde. Bw’omala okusoma alipoota y’obuwereeza evudde ku ofiisi y’ettabi, buuza ebibuuzo ababuulizi be wateeseteese, abaafuna ebyokulabirako ebirungi mu buwereeza omwaka oguwedde.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 2
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 137 n’Okusaba