Jjanwali 15-21
MATAYO 6-7
Oluyimba 21 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Musooke Munoonyenga Obwakabaka”: (Ddak. 10)
Mat 6:10—Obwakabaka kye kimu ku bintu Yesu bye yasooka okwogerako mu ssaala gye yawa ng’ekyokulabirako, era ekyo kiraga nti bukulu nnyo (bhs 178 ¶12)
Mat 6:24—Tetuyinza kubeera baddu ba Katonda na ba byabugagga (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)
Mat 6:33—Yakuwa akola ku byetaago by’abaweereza be abakulembeza Obwakabaka (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa; w16.07 12 ¶18)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Mat 7:12—Tuyinza tutya okukolera ku kyawandiikibwa kino nga tutegeka ennyanjula ze tunaakozesa mu buweereza? (w14 5/15 14 ¶14-16)
Mat 7:28, 29—Yesu bwe yabanga ayigiriza, abantu baakwatibwangako batya, era lwaki? (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mat 6:1-18
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Tandika ng’okozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza bubaka bwaffe nga yekwasa ensonga gye batera okuwa mu kitundu kyammwe.
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika ng’okozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Omuntu gwe wayogera naye ku mulundi ogwasooka taliiwo, naye osanzeewo omuntu omulala.
Okulaga Vidiyo ku Kuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulage vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Mulekere Awo Okweraliikirira”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Musooke mulabe ekitundu ekyaggibwa mu vidiyo erina omutwe, Bye Tuyiga mu Bigambo bya Yesu Ebiyamba Omuntu Okukuba Akafaananyi—Mwetegereze Ebinnyonyi n’Amalanga.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 4
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 132 n’Okusaba