OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Mulekere Awo Okweraliikirira
Yesu bwe yali ayigiriza ku lusozi, yagamba nti: “Mulekere awo okweraliikirira ebikwata ku bulamu bwammwe.” (Mat 6:25) Wadde ng’omuntu atatuukiridde ali mu nsi ya Sitaani eno tasobola kwewalira ddala kweraliikirira, Yesu yali ayigiriza abagoberezi be obuteeraliikirira kisukkiridde. (Zb 13:2) Lwaki? Kubanga okweraliikirira ekisukkiridde, ka kube kweraliikirira ebyetaago by’obulamu, kiyinza okutuwugula ne kituzibuwalira okukulembeza Obwakabaka. (Mat 6:33) Ebigambo Yesu bye yaddako okwogera bisobola okutuyamba okwewala okweraliikirira ekisukkiridde.
-
Mat 6:26—Biki bye tuyiga bwe twetegereza ebinyonyi? (w16.07 9-10 ¶11-13)
-
Mat 6:27—Lwaki okweraliikirira ekisukkiridde kuba kumala biseera? (w05 11/1 28 ¶5)
-
Mat 6:28-30—Biki bye tuyiga bwe tulowooza ku malanga ag’oku ttale? (w16.07 10-11 ¶15-16)
-
Mat 6:31, 32—Mu ngeri ki Abakristaayo gye bali ab’enjawulo ku bantu abalala? (w16.07 11 ¶17)
Nja kulekera awo okweraliikirira ebintu bino