Jjanwali 22-28
MATAYO 8-9
Oluyimba 17 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yesu Yali Ayagala Nnyo Abantu”: (Ddak. 10)
Mat 8:1-3—Yesu yalaga omugenge ekisa eky’ensusso (nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 8:3)
Mat 9:9-13—Yesu yali ayagala n’abantu abaali banyoomebwa (nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 9:10)
Mat 9:35-38—Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo abantu, yababuuliranga amawulire amalungi ne bwe yabanga akooye, era yasaba Katonda ayongere abakozi mu mulimu gw’okukungula (nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 9:36)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Mat 8:8-10—Kyakuyiga ki ekiri mu bigambo Yesu bye yagamba omusirikale? (w02 9/1 lup. 8 ¶16)
Mat 9:16, 17—Kiki Yesu kye yali ayigiriza mu byokulabirako ebibiri bye yawa mu nnyiriri zino? (jy lup. 70 ¶6)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mat 8:1-17
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika ng’okozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muyite ajje mu nkuŋŋaana.
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Weerondere ekyawandiikibwa n’akatabo k’onookozesa okuyigiriza omuntu.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bhs lup. 47 ¶18-19
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
‘Katonda Yamufuula Mukama Waffe era Kristo’—Ekitundu 1: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Oluvannyuma lw’okusoma Matayo 9:18-25 n’okulaba ekitundu ekyaggibwa mu vidiyo eyo waggulu, muddemu ebibuuzo bino:
Yesu yalaga atya nti yali alumirirwa omukazi omulwadde ne Yayiro?
Ebyo Yesu bye yabakolera binyweza bitya okukkiriza kwo mu bunnabbi obukwata ku biseera eby’omu maaso nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda?
Tuyinza tutya okukoppa engeri Yesu gye yalagamu abantu okwagala?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 5
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 95 n’Okusaba