Jjanwali 29–Febwaliu 4
MATAYO 10-11
Oluyimba 4 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yesu Yazzangamu Abalala Amaanyi”: (Ddak. 10)
Mat 10:29, 30—Yesu okutukakasa nti Yakuwa afaayo ku buli omu ku ffe kizzaamu nnyo amaanyi (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa n’ekifaananyi)
Mat 11:28—Okuweereza Yakuwa kizzaamu nnyo amaanyi (nwtsty awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa)
Mat 11:29, 30—Okugondera obukulembeze bwa Kristo n’okugoberera obulagirizi bwe kizzaamu amaanyi (nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 11:29)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Mat 11:2, 3—Lwaki Yokaana Omubatiza yabuuza ekibuuzo kino? (jy lup. 96 ¶2-3)
Mat 11:16-19—Ennyiriri zino tusaanidde kuzitegeera tutya? (jy lup. 98 ¶1-2)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mat 11:1-19
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Laba ku lup. 1.
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Weerondere ekyawandikibwa n’ekibuuzo ky’onoddamu.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bhs lup. 45-46 ¶15-16—Muyite ajje mu nkuŋŋaana.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okuzzaamu Amaanyi Abo ‘Abategana era Abazitoowereddwa’: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo (genda ku vidiyo EBYOKULABIRAKO N’OKUBUUZA EBIBUUZO). Oluvannyuma, mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Biki ebyali byakabaawo ebyaviirako abamu okuba nga beetaaga okubudaabudibwa?
Yakuwa ne Yesu babazzizzaamu batya amaanyi okuyitira mu kibiina?
Ebyawandiikibwa bibazzizzaamu bitya amaanyi?
Buli omu ku ffe ayinza atya okuzzaamu abalala amaanyi?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 6, akas. ku lup. 20
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 138 n’Okusaba