Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 4-5

Bye Tuyiga mu Kuyigiriza kwa Yesu okw’Oku Lusozi

Bye Tuyiga mu Kuyigiriza kwa Yesu okw’Oku Lusozi

5:3

Omanyi obwetaavu bwo obw’eby’omwoyo?

Ebigambo “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo” obutereevu bivvuunulwa nti “abo abasabiriza omwoyo.” (Mat 5:3; obugambo obuli wansi.) Tusobola okulaga nti tulina obwetaavu obw’eby’omwoyo nga . . .

  • tusoma Bayibuli buli lunaku

  • tweteekerateekera enkuŋŋaana era nga tuzibeeramu obutayosa

  • tufuba okusoma ebitabo byaffe n’ebintu ebirala ebiri ku mukutu gwaffe

  • tulaba programu ya buli mwezi ebeera ku JW Broadcasting

Nnyinza ntya okwongera ku biseera bye mmala nga ndya emmere ey’eby’omwoyo?