OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Sooka Otabagane ne Muganda Wo—Mu Ngeri Ki?
Kuba akafaananyi ng’obeera mu Ggaliraaya, mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi. Ogenze e Yerusaalemi ku Mbaga ey’Ensiisira, era ekibuga kijjuddemu abantu abalala abasinza Yakuwa, abavudde okumpi n’ewala. Oyagala okuwaayo ekiweebwayo kyo eri Yakuwa. Oyita mu nkuyanja y’abantu ng’eno bw’osika embuzi yo, okugenda awali yeekaalu. Bw’otuuka mu yeekaalu, osanga ejjuddemu abantu abazze okuwaayo ssaddaaka zaabwe. Kyaddaaki, ekiseera kyo kituuka eky’okukwasa kabona embuzi yo. Oba tonnagimukwasa, n’ojjukira nti muganda wo, oboolyawo nga naye ali awo mu yeekaalu oba akyali mu kibuga, alina ky’akwemulugunyaako. Yesu annyonnyola ky’osaanidde okukola. (Soma Matayo 5:24.) Ggwe awamu ne muganda wo oyo muyinza mutya okutereeza ensonga nga Yesu bw’agambye? Ku nkalala zombi wammanga, golola ku ky’okuddamu ekituufu.
OSAANIDDE . . .
-
obutayogera na muganda wo, okuggyako ng’olaba nti yali mutuufu okukunyiigira
-
okugezaako okutereeza endowooza ya muganda wo bw’oba owulira nti yayanguyiriza okukunyiigira oba nti naye avunaanyizibwa olw’ekyo ekyaliwo
-
okuwuliriza obulungi nga muganda wo akubuulira bw’awulira, era n’okumwetondera mu bwesimbu olw’okumunyiiza, wadde ng’ensonga z’akuwadde tozitegedde bulungi
MUGANDA WO ASAANIDDE . . .
-
okubuulira abalala mu kibiina engeri gye wamuyisaamu basobole okumuyamba
-
okukuyombesa n’okukubuulira kalonda yenna akwata ku ekyo kye wamukola, era n’okukuwaliriza okukkiriza ensobi yo
-
okukijjukira nti kikwetaagisizza obuvumu n’obwetoowaze okusobola okumutuukirira n’okumwetondera, era n’akusonyiyira ddala awatali kakwakkulizo konna
Wadde nga leero tetuwaayo ssaddaaka za nsolo, Yesu yalaga nti waliwo kakwate ki wakati w’okusinza kwaffe, n’enkolagana yaffe ne baganda baffe?