OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Salawo Okuweereza Yakuwa
Bw’oba oli mubuulizi omuvubuka atali mubatize oba omuyizi wa Bayibuli, olina ekiruubirirwa eky’okubatizibwa? Lwaki wandibatiziddwa? Okwewaayo n’okubatizibwa bikusobozesa okuba n’enkolagana ey’enjawulo ne Yakuwa. (Zb 91:1) Ate era bijja kukusobozesa okulokolebwa. (1Pe 3:21) Biki by’oyinza okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?
Ggwe kennyini weekakasize nti by’oyiga ge mazima. Bw’obaako ebibuuzo bye weebuuza, noonyereza ofune eby’okuddamu. (Bar 12:2) Laba we weetaaga okukola enkyukakyuka era ozikole ng’olina ekigendererwa eky’okusanyusa Yakuwa. (Nge 27:11; Bef 4:23, 24) Bulijjo musabe akuyambe. Beera mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe. (1Pe 5:10, 11) Ojja kufuna emikisa mingi olw’okufuba kwo. Okuweereza Yakuwa bwe bulamu obusingayo obulungi!—Zb 16:11.
MULABE VIDIYO, ENGERI GY’OYINZA OKUTUUKA KU DDAALA ERY’OKUBATIZIBWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Biki abamu bye basobodde okuvvuunuka okusobola okubatizibwa?
-
Oyinza otya okufuna okukkiriza okunaakusobozesa okwewaayo eri Yakuwa?
-
Biki ebikubirizza abamu okutuukiriza ebisaanyizo ebyetaagisa okusobola okubatizibwa?
-
Mikisa ki abo abasalawo okuweereza Yakuwa gye bafuna?
-
Okwewaayo n’okubatizibwa bitegeeza ki?