Febwali 22-28
Okubala 5-6
Oluyimba 81 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Oyinza Otya Okukoppa Abanaziri?”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Kbl 6:6, 7—Lwaki Samusooni yasigala nga Munaziri ate nga yakwatanga ku mirambo gy’abantu be yabanga asse? (w05-E 1/15 lup. 30 ¶2)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Kbl 5:1-18 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Beera ng’amulaga vidiyo Abajulirwa ba Yakuwa Be Baani? era mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 1)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 3)
Okwogera: (Ddak. 5) w06-E 1/15 lup. 32—Omutwe: Ekintu Ekyazuulibwa Ekikakasa nti Ebiri mu Bayibuli Bituufu. (th essomo 13)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Onooweereza nga Payoniya Omuwagizi mu Maaki oba Apuli?”: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo.
Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Mukolo gw’Ekijjukizo Ajja Kutandika ku Lwomukaaga, Febwali 27: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Buli omu muwe akapapula akayita abantu ku Mukolo gw’Ekijjukizo, era mu bufunze mwogere ku ebyo ebikalimu. Babuulire enteekateeka ezikoleddwa okusobola okumalako ekitundu kyammwe. Mulabe vidiyo eraga ennyanjula enaakozesebwa. Oluvannyuma buuza abawuliriza ebibuuzo bino: Ddi lwe tusaanidde okulaga abantu vidiyo, Okujjukira Okufa kwa Yesu? Oyinza otya okumanya oba ng’omuntu alaze okusiima?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 5 ¶9-16
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 36 n’Okusaba