Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Okwagala kwa Kristo kutusindiikiriza.”​—2Ko 5:14

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Onooweereza nga Payoniya Omuwagizi mu Maaki oba Apuli?

Onooweereza nga Payoniya Omuwagizi mu Maaki oba Apuli?

Wandyagadde okukola ekisingawo mu buweereza mu kiseera ky’Ekijjukizo? (2Ko 5:14, 15) Mu Maaki oba Apuli, abo abanaaweereza nga bapayoniya abawagizi basobola okuwaayo essaawa 30 oba 50. Bw’oba nga wandyagadde okuweereza nga payoniya omuwagizi, osobola okuwaayo foomu yo eri Akakiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina. Buli mwezi, amannya g’abo abanaaweereza nga bapayoniya abawagizi gajja kusomebwa mu kibiina. Ekyo kijja kusobozesa ababuulizi abalala okuwagira bapayoniya mu buweereza. Ka ffenna tukozese akakisa ke tufuna mu kiseera ky’Ekijjukizo okugaziya ku buweereza bwaffe n’okuzziŋŋanamu amaanyi.​—1Se 5:11.