Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Tutegekeddwa Okubuulira Buli Muntu

Tutegekeddwa Okubuulira Buli Muntu

Nga Yakuwa bwe yategeka Abayisirayiri, ne leero ategeka abantu be okukola by’ayagala. Okwetooloola ensi, ofiisi z’amatabi, ebitundu, ebibiina, n’ebibinja by’obuweereza, byonna bikolera wamu okusobola okutuukiriza omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Tubuulira buli omu, nga mw’otwalidde n’abo aboogera olulimi olw’enjawulo ku lwaffe.​—Kub 14:6, 7.

Wali olowoozezzaako ku ky’okuyiga olulimi olulala osobole okuyamba abalala okuyiga amazima? Ne bw’oba nga tolina budde bumala kuyiga lulimi lulala, osobola okukozesa programu ya JW Language okuyigayo ennyanjula ennyangu mu lulimi olulala. Bw’okozesa ennyanjula eyo mu buweereza, osobola okufuna essanyu Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka lye baafuna bwe baabuulira abantu “ku bintu bya Katonda eby’ekitalo” mu nnimi zaabwe.​—Bik 2:7-11.

MULABE VIDIYO, BEERA MUKWANO GWA YAKUWA​—BUULIRA MU LULIMI OLULALA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ddi lw’oyinza okukozesa programu ya JW Language?

  • Bintu ki ebiriko?

  • Abantu ab’amawanga gonna beetaaga okuwulira amawulire amalungi

    Nnimi ki abantu ze boogera mu kitundu kyammwe?

  • Kiki kye tusaanidde okukola singa omuntu asiimye obubaka bwaffe ayogera lulimi lulala?​—od lup. 100-101 ¶39-41