Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Munyweze Obufumbo Bwammwe

Munyweze Obufumbo Bwammwe

Ebirayiro abantu bye bakuba nga bafumbiriganwa Yakuwa abitwala nga bikulu nnyo, era ayagala omwami n’omukyala buli omu anywerere ku munne. (Mat 19:5, 6) Waliwo abaweereza ba Katonda bangi abalina essanyu mu bufumbo bwabwe. Kyokka, tewali bufumbo butuukiridde obutaliimu bizibu. Tusaanidde okwewala endowooza egamba nti okwawukana oba okugattululwa y’engeri y’okugonjoolamu ebizibu ebiba bizzeewo mu bufumbo. Abafumbo bayinza batya okunyweza obufumbo bwabwe?

Mulowooze ku bintu bino ebitaano.

  1. Kuuma omutima gwo nga weewala ebintu gamba ng’okuzannyirira n’omuntu atali munno mu bufumbo n’eby’okwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’obugwenyufu, kubanga ebintu ng’ebyo byonoona obufumbo.​—Mat 5:28; 2Pe 2:14.

  2. Nyweza enkolagana yo ne Yakuwa era fuba okukola ebimusanyusa mu bufumbo bwo.​—Zb 97:10.

  3. Weeyongere okwambala omuntu omuggya, era n’okukola ebintu ebitonotono ebinaaleetera munno mu bufumbo okulaba nti omwagala.​—Bak 3:8-10, 12-14.

  4. Yogera ne munno mu ngeri eraga nti omuwa ekitiibwa.​—Bak 4:6.

  5. Buli omu asasule munne ekimugwanira mu ngeri eraga nti amufaako era nti amwagala.​—1Ko 7:3, 4; 10:24.

Abakristaayo bwe bassa ekitiibwa mu bufumbo, baba balaga nti bawa oyo eyatandikawo enteekateeka eyo ekitiibwa.

MULABE VIDIYO, TULINA ‘OKUDDUKA N’OBUGUMIIKIRIZA’​—GOBERERA AMATEEKA, OLUVANNYUMA MUDDEMU BIBUUZO BINO:

  • Wadde ng’obufumbo buyinza okutandika obulungi, kusoomoozebwa ki okuyinza okujjawo?

  • Emisingi gya Bayibuli giyinza gitya okuyamba abo abawulira nti obufumbo bwabwe tebukyalimu ssanyu?

  • Okusobola okufuna essanyu mu bufumbo bwammwe mukolere ku misingi gya Bayibuli

    Mateeka ki Yakuwa ge yateerawo abafumbo?

  • Obufumbo okusobola okubaamu essanyu, biki buli omu ku bafumbo by’alina okukola?