OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Enkuŋŋaana Ennene Ezibaawo Buli Mwaka Zituwa Akakisa Okwoleka Okwagala
Lwaki tunyumirwa nnyo enkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu ezibaawo buli mwaka? Okufaananako Abayisirayiri, enkuŋŋaana ennene zituwa akakisa okusinza Yakuwa nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe bikumi na bikumi. Ku nkuŋŋaana ezo tuyigirizibwa ebintu ebituyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, era tunyumirwa okubeerako awamu ne mikwano gyaffe n’ab’omu maka gaffe. Olw’okuba tusiima nnyo enkuŋŋaana ezo, tufuba okubeerawo ennaku zonna essatu.
Bwe tukuŋŋaana awamu, tetusaanidde kukoma ku kulowooza ku ngeri gye tunaaganyulwamu naye era tusaanidde n’okulowooza ku ngeri gye tuyinza okulagamu abalala okwagala. (Bag 6:10; Beb 10:24, 25) Bwe tufunira ow’oluganda oba mwannyinaffe aw’okutuula oba bwe tukwata ebifo ebyo byokka bye tunaakozesa tuba tulaga nti tetwefaako ffekka. (Baf 2:3, 4) Enkuŋŋaana ennene zituwa akakisa okufuna emikwano emipya. Nga programu tennatandika oba ng’ewedde oba mu kiseera eky’okuwummulamu, tusobola okukifuula ekiruubirirwa kyaffe okunyumyako n’ab’oluganda be tutamanyi tusobole okubamanya. (2Ko 6:13) Emikwano gye tufuna ku nkuŋŋaana ng’ezo gisobola okuba egy’olubeerera! N’ekisinga byonna, abalala bwe balaba nga twoleka okwagala okwa nnamaddala, bayinza okutwegattako mu kuweereza Yakuwa.—Yok 13:35.
MULABE VIDIYO, ENKUŊŊAANA EZ’ENSI YONNA EZAALINA OMUTWE “OKWAGALA TEKULEMERERWA,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Abagenyi abaaliwo ku nkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna eza 2019 baalagibwa batya okwagala?
-
Lwaki kyewuunyisa nnyo okuba nti abantu ba Yakuwa bali bumu era baagalana?
-
Bintu ki eby’enjawulo ebikwata ku kwagala, ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi bye baayogerako?
-
Okwagala kwayamba kutya ab’oluganda mu Bugirimaani ne mu South Korea okusigala nga bali bumu?
-
Kiki ky’omaliridde okukola?