Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Katonda ne Kristo Bajja Kutusobozesa Okufuna Eddembe Erya Nnamaddala

Katonda ne Kristo Bajja Kutusobozesa Okufuna Eddembe Erya Nnamaddala

Kusoomoozebwa ki kw’oyolekagana nakwo buli lunaku? Oli mutwe gw’amaka alina obuvunaanyizibwa obungi? Oli muzadde ali obwannamunigina afuba okulabirira ab’omu maka ge? Oli mwana akyali mu ssomero era nga bayizi banno bakuyiikiriza? Olina obulwadde obukutawaanya oba ebizibu ebiva mu kukaddiwa? Buli omu alina okusoomoozebwa kw’ayitamu. Abakristaayo bangi boolekagana n’ebizibu bingi mu kiseera kye kimu. Naye tukimanyi nti mu kiseera ekitali kya wala ebizibu bijja kuggwaawo.—2Ko 4:16-18.

Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa ategeera bye tuyitamu, asiima obwesigwa n’obugumiikiriza bwe twoleka, era alina ebirungi bingi by’asuubizza okutukolera. (Yer 29:11, 12) Yesu naye atufaako nnyo. Nga bwe tufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe atukakasa nti, ‘ali wamu naffe.’ (Mat 28:20) Bwe tufumiitiriza ku ddembe lye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda, kinyweza essuubi lye tulina era ne kituyamba okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo mu kiseera kino.—Bar 8:19-21.

MULABE VIDIYO, NG’OMUYAGA GUSEMBERA, WEEYONGERE OKWEKALIRIZA YESU!​—EMIKISA GY’OBWAKABAKA EGY’EBISEERA EBY’OMU MAASO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Abantu baatuuka batya okweyawula ku Katonda, era biki ebyavaamu?

  • Abo abeesigwa eri Yakuwa banaaba mu bulamu bwa ngeri ki mu biseera eby’omu maaso?

  • Obulamu obwo obulungi bunaasoboka butya okubaawo?

  • Biki bye weesunga mu nsi empya?

Weerabe ng’oli mu nsi empya