Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abazadde, Muteeketeeke Abaana Bammwe nga Bukyali

Abazadde, Muteeketeeke Abaana Bammwe nga Bukyali

Tuli mu nsi omuli abantu abatwala ekirungi okuba ekibi n’ekibi okuba ekirungi. (Is 5:20) Abantu bangi bakola ebikolwa Yakuwa by’akyawa nga mw’otwalidde ebikolwa eby’obugwenyufu gamba ng’okulya ebisiyaga. Abaana baffe bayinza okupikirizibwa bannaabwe be basoma nabo oba abantu abalala okwenyigira mu bikolwa ng’ebyo eby’obugwenyufu. Oyinza otya okuteekateeka abaana bo ne basobola okwaŋŋanga embeera ng’eyo n’ebigezo ebirala?

Yamba abaana bo okumanya emitindo gya Yakuwa. (Lev 18:3) Okusinziira ku myaka gyabwe, bayambe okumanya ekyo Bayibuli ky’eyogera ku by’okwegatta. (Ma 6:7) Weebuuze: ‘Njigirizza abaana bange engeri entuufu ey’okwolekamu okwagala, obukulu bw’okwambala mu ngeri esaana, n’okumanya abo be bakolagana nabo we balina okukoma? Abaana bange bamanyi eky’okukola singa omuntu agezaako okubalaga ebifaananyi eby’obuseegu oba abagamba okukola ekintu Yakuwa ky’akyawa?’ Okubateekateeka nga bukyali kisobola okubayamba okwewala ebizibu. (Nge 27:12; Mub 7:12) Bwe muyigiriza abaana bammwe, muba mulaga nti musiima eky’obusika kye mwafuna okuva eri Yakuwa.​—Zb 127:3.

MULABE VIDIYO, ZIMBA ENNYUMBA ENEEWANGAALA​—KUUMA ABAANA BO BALEME KUTUUKIBWAKO KABI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Lwaki abazadde abamu balonzalonza okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku by’okwegatta?

  • Lwaki abazadde basaanidde okutendeka abaana baabwe mu “kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa”?​—Bef 6:4

  • Amagezi kya bukuumi

    Bintu ki ekibiina kya Yakuwa bye kituwadde okuyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku by’okwegatta?​—w19.05 lup. 12, akasanduuko

  • Lwaki musaanidde okwogeranga n’abaana bammwe buli lunaku ng’ebizibu tebinnabaawo?