Jjanwali 10-16
EKYABALAMUZI 17-19
Oluyimba 88 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okumenya Amateeka ga Katonda Kivaamu Ebizibu Bingi”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Bal 19:18—Lwaki erinnya lya Katonda lyateekebwa mu lunyiriri luno mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 2013? (w15 12/15 10 ¶6)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Bal 17:1-13 (th essomo 2)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Okuddiŋŋana: Katonda Atufaako—Yer 29:11. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Okuddiŋŋana: (Ddak. 3) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 6)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 5) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe brocuwa Nnyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! era otandike okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa essomo 01. (th essomo 13)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mukwano gwa Yakuwa—Gondera Bazadde Bo: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Bwe kiba kisoboka, buuza abaana be wateeseteese ebibuuzo bino. Kalebu yajeemera atya maama we? Kalebu yatereeza atya ensobi ye? Lwaki osaanidde okugondera bazadde bo?
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 5)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 18 ¶16-25
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 150 n’Okusaba