Jjanwali 3-9
EKYABALAMUZI 15-16
Oluyimba 124 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okulyamu Abalala Olukwe Kintu Kibi Nnyo!”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Bal 16:1-3—Ebyo ebiri mu nnyiriri zino bitegeeza ki? (w05-E 3/15 lup. 27 ¶6)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Bal 16:18-31 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Omulundi Ogusooka: Katonda Atufaako—Mat 10:29-31. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 3)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 5) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe brocuwa Nnyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, era obe ng’amulaga vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? (th essomo 9)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Bayibuli Yataasa Obufumbo Bwaffe: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Oluvannyuma buuza abawuliriza ebibuuzo bino: Misingi ki egyayamba buli omu ku bafumbo abo okutaasa obufumbo bwabwe? Okuddamu okubeera n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo kyabayamba kitya? Lwaki abafumbo basaanidde okufuba okugonjoola ebizibu bye bafuna mu bufumbo bwabwe? Wa abafumbo gye bayinza okuggya obuyambi obw’eby’omwoyo?—Yak 5:14, 15.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 18 ¶9-15, akas. 18A
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 149 n’Okusaba