February 13-19
1 EBYOMUMIREMBE 13-16
Oluyimba 123 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okukolera ku Bulagirizi Kivaamu Emikisa”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
1By 16:31—Lwaki Abaleevi baayimba nti: “Yakuwa afuuse Kabaka!”? (w14 1/15 lup. 10 ¶14)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 1By 13:1-14 (th essomo 11)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 18)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, oluvannyuma omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 7)
Okwogera: (Ddak. 5) w16.01 lup. 13-14 ¶7-10—Omutwe: “Okwagala kwa Kristo Kutusindiikiriza.”—2Ko 5:14. (th essomo 8)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mukwano gwa Yakuwa—Ssaayo Omwoyo ng’Oli mu Nkuŋŋaana: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Bwe kiba kisoboka buuza abaana be wategese nga bukyali ebibuuzo bino: Lwaki tusaanidde okussaayo omwoyo nga tuli mu nkuŋŋaana? Kiki ekiyinza okukuyamba okussaayo omwoyo?
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 10)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 37 akatundu 6 ne mu bufunze, okwejjukanya, n’eky’okukolako
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 21 n’Okusaba