February 20-26
1 EBYOMUMIREMBE 17-19
Oluyimba 110 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Sigala ng’Oli Musanyufu Wadde ng’Ebintu Tebigenze nga Bwe Wandyagadde”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
1By 17:16-18—Okufaananako Dawudi, tuyinza kuba bakakafu ku ki? (w20.02 lup. 12, akasanduuko)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 1By 18:1-17 (th essomo 2)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Beera ng’amulaga vidiyo Abajulirwa ba Yakuwa Be Baani?, oluvannyuma mugikubaganyeko ebirowoozo. (th essomo 17)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, oluvannyuma muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 3)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lff essomo 09 akatundu 4 (th essomo 9)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Lipoota y’Omwaka gw’Obuweereza: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’omwaka gw’obuweereza evudde ku ofiisi y’ettabi, basabe boogera ku birungi ebiri mu Alipoota y’Obuweereza ey’Ensi Yonna ey’Abajulirwa ba Yakuwa eya 2022. Buuza ebibuuzo ababuulizi be walonze nga bukyali, abalina ebyokulabirako ebirungi bye baafuna mu mulimu gw’okubuulira mu mwaka gw’obuweereza oguwedde.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 38 akatundu 1-4
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 141 n’Okusaba