Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Fuba Okumanya Endowooza ya Katonda

Fuba Okumanya Endowooza ya Katonda

Twagala okusanyusa Yakuwa mu byonna bye tukola. (Nge 27:11) Ekyo okusobola okukikola, kitwetaagisa okuba ng’ebyo bye tusalawo bituukagana n’endowooza ye ne bwe waba nga tewaliwo tteeka lyogera butereevu ku ekyo kye tuba tugenda okusalawo. Kiki ekiyinza okutuyamba okusalawo obulungi?

Beera n’enteekateeka ey’okwesomesa Bayibuli obutayosa. Buli lwe tusoma Bayibuli, tuba ng’abawaddeyo ebiseera okubeerako ne Yakuwa. Tusobola okumanya endowooza ya Yakuwa nga twekenneenya engeri gye yakolaganamu n’abantu be, era nga tufumiitiriza ku byokulabirako by’abo abaakola ebirungi n’abo abaakola ebibi mu maaso ge. Bwe tuba nga tulina kye twagala okusalawo, omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okujjukira ebyo bye tuba twayiga mu Kigambo kya Katonda.​—Yok 14:26.

Noonyereza. Bw’oba ng’olina ky’ogenda okusalawo, weebuuze, ‘Byawandikiibwa ki mu Bayibuli ebisobola okunnyamba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku kintu kino?’ Saba Yakuwa akuyambe era kozesa ebintu bye tukozesa mu kunoonyereza ebiri mu lulimi lwo osobole okuzuula emisingi gya Bayibuli egisobola okukuyamba mu ekyo ky’oyagala okusalawo.​—Zb 25:4.

MULABE VIDIYO TULINA “OKUDDUKA N’OBUGUMIIKIRIZA”​—LYA EMMERE ERIMU EKIRIISA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO WAMMANGA:

  • Kupikirizibwa ki mwannyinaffe gwe tulabye mu vidiyo kwe yayolekagana nakwo?

  • Oyinza otya okukozesa ebyo bye tukozesa mu kunoonyereza okukuyamba okwaŋŋanga okupikirizibwa ng’okwo?

  • Tuganyulwa tutya bwe tuwaayo ebiseera okunoonyereza ku ebyo ebisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi?​—Beb 5:13, 14