OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Weeteerewo Ebiruubirirwa Ebinaakuyamba Okugaziya ku Buweereza Bwo mu Kiseera ky’Ekijjukizo
Buli mwaka abaweereza ba Yakuwa baba beesunga omukolo gw’Ekijjukizo. Ng’ebula wiiki ntono omukolo gw’Ekijjukizo gutuuke, tukozesa buli kakisa ke tufuna okutendereza Yakuwa n’okumwebaza olw’ekirabo kye yatuwa eky’ekinunulo. (Bef 1:3, 7) Ng’ekyokulabirako, tufuba okuyita abantu okubaawo ku Kijjukizo. Abamu bakola enteekateeka okuweereza nga bapayoniya abawagizi, nga bawaayo essaawa 30 oba 50 mu mwezi gwa Maaki oba ogwa Apuli. Naawe wandyagadde okugaziya ku buweereza bwo mu kiseera kino eky’Ekijjukizo? Kiki ekinaakuyamba okukola ekyo?
Emirundi mingi bwe tweteekateeka nga bukyali, kituyamba okubaako ebintu bingi bye tukola. (Nge 21:5) Olw’okuba ekiseera ky’Ekijjukizo kinaatera okutuuka, kirungi okutandika kati okweteekateeka. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okugaziya ku buweereza bwo mu kiseera ky’Ekijjukizo, era olabe n’ebyo ebinaakuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Oluvannyuma saba Yakuwa awe omukisa okufuba kwo.—1Yo 5:14, 15.
Waliwo ebintu by’oyinza okulowoozaako by’osobola okukola okugaziya ku buweereza bwo mu kiseera ky’Ekijjukizo?